Job 15

Erifaazi Ayogera

1Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,

2 a“Omuntu ow’amagezi yandizzeemu n’amagezi agataliimu,
oba n’ajjuza olubuto lwe embuyaga ez’ebuvanjuba?
3Yandiwakanye n’ebigambo ebitaliiko kye bigasa,
oba okwogera ebigambo ebitalina kye bikola?
4Naye onyooma Katonda
n’oziyiza okwewaayo eri Katonda.
5 bKubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko,
era olonzeewo okukozesa olulimi lw’abalimba.
6 cAkamwa ko kennyini ke kakusalira omusango si nze,
emimwa gyo gyennyini gye gikulumiriza.

7 d“Gwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa?
Oba ggwe wazaalibwa ensozi nga tezinnabaawo?
8 eOfaayo okuwuliriza okuteesa kwa Katonda?
Olowooza gwe mugezi wekka?
9 fKiki ky’omanyi kye tutamanyi?
Kubikkulirwa ki kw’olina ffe kwe tutalina?
10 gAb’envi abakaddiye bali ku ludda lwaffe,
abasajja abakulu n’okusinga kitaawo.
11 hKatonda by’akugambye ebikuzzaamu amaanyi bitono nnyo tebikumala,
ebigambo ebikubuuliddwa mu bukkakkamu?
12 iLwaki omutima gwo gukubuzizza,
amaaso go ne gatemereza
13n’olyoka ofuka obusungu bwo eri Katonda,
n’ofukumula ebigambo bwe bityo okuva mu kamwa ko?

14 j“Omuntu ye ani, alyoke abeere omutukuvu,
oba oyo azaalibwa omukazi nti ayinza okuba omutuukirivu?
15 kKatonda bw’aba tassa bwesige mu batukuvu be,
n’eggulu ne liba nga si ttukuvu mu maaso ge,
16 loba oleeta otya omuntu obuntu, omugwagwa era omuvundu,
anywa obutali butuukirivu nga amazzi!

17“Mpuliriza nnaakunnyonnyola,
leka nkubuulire kye ndabye:
18 mabasajja ab’amagezi kye bagambye
nga tebalina kye bakwese ku kye baafuna okuva eri bakadde baabwe
19abo bokka abaweebwa ensi
nga tewali mugwira agiyitamu.
20 nOmuntu omukozi w’ebibi, aba mu kubonaabona ennaku ze zonna,
n’anyigirizibwa emyaka gyonna egyamutegekerwa.
21 oAmaloboozi agatiisa gajjuza amatu ge;
byonna bwe biba ng’ebiteredde, abanyazi ne bamulumba.
22 pAtya okuva mu kizikiza adde,
ekitala kiba kimulinze okumusala.
23 qAdda eno n’eri ng’anoonya ky’anaalya,
amanyi ng’olunaku olw’ekizikiza lumutuukiridde.
24Okweraliikirira n’obubalagaze bimubuutikira,
bimujjula nga kabaka eyetegekedde olutalo.
25 rKubanga anyeenyerezza Katonda ekikonde,
ne yeegereegeranya ku oyo Ayinzabyonna,
26n’agenda n’ekyejo amulumbe,
n’engabo ennene enzito.

27 s“Wadde nga yenna yagejja amaaso
ng’ajjudde amasavu mu mbiriizi,
28 twakubeera mu bibuga eby’amatongo,
ne mu bifulukwa,
ennyumba ezigwa okufuuka ebifunfugu.
29 uTaddeyo kugaggawala,
n’obugagga bwe tebulirwawo,
n’ebintu by’alina tebirifuna mirandira mu ttaka.
30 vTaliwona kizikiza,
olulimi lw’omuliro lunaakazanga amatabi ge,
era omukka gw’omu kamwa gulimugobera wala.
31 wAlemenga okwerimba nga yeesiga ebitaliimu,
kubanga talina ky’ajja kuganyulwa.
32 xWa kusasulwa byonna ng’obudde tebunnatuuka,
n’amatabi ge tegalikula.
33 yAliba ng’omuzabbibu ogugiddwako emizabbibu egitannaba kwengera,
ng’omuzeyituuni ogukunkumula ebikoola byagwo.
34 zKubanga ekibiina ky’abatatya Katonda kinaabeeranga kigumba,
era omuliro gunaayokyanga weema ezinaabangamu enguzi.
35 aaBaba embuto ez’ekibi ne bazaala obutali butuukirivu,
embuto zaabwe zizaala obulimba.”
Copyright information for LugEEEE